ne bagitwala mu Ssinzizo. Bakabona n'Abaleevi, Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama nayo ne bagitwala mu Ssinzizo awamu n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu.
Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza na kubalika.
Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo, munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwali kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku lusozi Sinaayi, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu Misiri.
Abaleevi abayimbi bonna, Asafu, Hemani, Yedutuuni ne batabani baabwe, ne baganda baabwe, ne bayimirira ku ludda lwa alutaari olw'ebuvanjuba, nga bambadde ebyambalo ebyeru ebirungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, era nga bali wamu ne bakabona kikumi mu abiri, abafuuyi b'amakondeere.