Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba.
n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo erinnya lyo; okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuliranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno:
Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga:
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno:
Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno;
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi;
naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
Kale nno golokoka, ai Mukama Katonda, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ai Mukama Katonda, bambale obulokozi, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.