Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira, ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
Era ne bawa abazimbi n'ababazzi effeeza; n'ebyokulya n'ebyokunywa n'amafuta ne babiwa w'e Sidoni n’ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira.
Awo mu mwaka ogw'okubiri kasookedde bajja eri ennyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogw'okubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri mwe yasookera ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe abalala bakabona n'Abaleevi n'abo abaali bavudde mu busibe obwo ne bajja e Yerusaalemi; ne balagira Abaleevi abaakamaze emyaka amakumi asatu n'okukirawo okulabirira omulimu ogw'omu nnyumba ya Mukama.
Awo Yesuwa n'ayimirira ne batabani be ne baganda be, Kadumyeri ne batabani be, batabani ba Yuda, wamu okulabirira abakozi mu nnyumba ya Katonda: batabani ba Kenadadi ne batabani baabwe ne baganda baabwe Abaleevi.
Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya yeekaalu ya Mukama, ne bateeka bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka.
Ne bayimbiragana nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri. Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene bwe baatendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo.