ne balyoka basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Ka tuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatulinnyisa wano.
Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.
Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n'awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala eri Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli.
n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomosa n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, n'ebirala bwe bityo.
Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.
banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw'otyo bw'olisanga mu kitabo eky'okujjukiza, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby'edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.
Awo kabaka n'atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga n'addamu nti Emirembe n'ebirala bwe bityo.
Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo.
Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.
Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali.
Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekebwayo okutuusa omwaka ogw'okubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka We Buperusi.