BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Abalabe ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abawaŋŋangusibwa bazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli ekiggwa, |
| 2 |
| ne basemberera Zerubabbeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tuzimbe wamu nammwe, kubanga naffe tuli nga mmwe, tunoonya Katonda wammwe; tubadde tumutambirira okuva mu budde bwa Esari-Kaddoni kabaka wa Assuri, eyatuleeta wano.” |
| 3 |
| Naye Zerubabbeli, Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe eza Yisirayeli ne babagamba nti: “Si buvunaanyizibwa bwammwe okuzimbira Katonda waffe ekiggwa wamu naffe, wabula ffe ffekka ffe tunaazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli, nga Kuuro kabaka wa Buperusi bwe yatulagira.” |
| 4 |
| Ekyaddirira abantu ab'omu nsi ne batandika okuterebula abantu ba Yuda, ne babatawaanya mu kuzimba. |
| 5 |
| Baaguliriranga abakiise mu nkiiko babalyolyome, babasobeze mu ntegeka zaabwe ebbanga lyonna nga Kuuro ye kabaka wa Buperusi n'okutuuka ku bufuzi bwa Dariyo kabaka wa Buperusi. |
| 6 |
| Mu budde bwa Akasuwero nga yaakasooka okufuga, ne bawandiika nga bavunaana abantu b'omu Yuda ne Yeruzaalemu. |
| 7 |
| Mu budde bwa Arutakesasuta, Bisulamu, Mituredati, Tabeeli n'abalala bwe baakolanga baawandiikira Arutakesasuta kabaka wa Buperusi; ebbaluwa yali mu mpandiika ya Kyarami n'olulimi Lwarami. |
| 8 |
| Rekumu munnamateeka omukulu ne Simusayi omuwandiisi baawandiika ebbaluwa ewawaabira Yeruzaalemu ewa kabaka Arutakesasuta ng'esoma bw'eti ___ |
| 9 |
| Abaawandiika: Rekumu munnamateeka omukulu, Simusayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala abalamuzi n'abaami okuva mu Tulipoli, Buperusi, Ereci, Babiloni, Susa, kwe kugamba nti Abeelami, |
| 10 |
| n'abalala mu mawanga oweekitiibwa Osunappari omututumufu be yawaŋŋangusa n'abassa mu bibuga bya Samariya ne mu bitundu ebirala Emitala w'Omugga __ |
| 11 |
| Ebbaluwa gye baamuweereza yali efaanana bw'eti: “Ya kabaka Arutakesasuta, okuva mu baweereza bo abali Emitala w'Omugga: |
| 12 |
| tukutegeeza, ssebo Kabaka, nti Abayudaaya abajja eno mu ffe nga bava ewuwo, baatuuka mu Yeruzaalemu, era kati bali ku kuzimba ekibuga kino ekijeemu; bamaliriza bbugwe waakyo, era baddaabiriza n'omusingi. |
| 13 |
| Ssebo kabaka, twagala omanye nti singa ekibuga ekyo kizimbibwa, n'ebbugwe waakyo n'amalirizibwa, bajja kulekera awo okuwa omusolo omugereke, n'ogw'ekikungo n'empooza, oluvannyuma kabaka ajja kufiirizibwa. |
| 14 |
| Kubanga tulina obuvunaanyizibwa mu lubiri, tetwagala kulaba nga kabaka asoomoozebwa, kyetuvudde tuwandiika ne tubuulira kabaka, |
| 15 |
| onoonyereze mu biwandiiko by'ebyafaayo bya bakitaabo. Ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nti ekibuga kino kibuga kijeemu, kiwakula ennyombo ku bakabaka n'ebitundu bye bafuga; obwedda n'obwedda kibuga kikozi kya bujagalalo. Eyo ye nsonga kyekyava kizikirizibwa. |
| 16 |
| Tukubuulira, ssebo kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kizimbibwa ne bbugwe n'amalirizibwa, tojja kusigaza kantu Emitala w'Omugga.” |
| 17 |
| Kabaka n'aweereza okuddamu nti: “Ya Rekumu munnamateeka omukulu, Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abali mu Samariya ne mu kitundu ky'Emitala w'Omugga. Mirembe. |
| 18 |
| Ebbaluwa gye mumpandiikidde ngifunye, era ekyusiddwa n'esomebwa mu maaso gange. |
| 19 |
| Nayisizza ekirangiriro ne banoonyereza, ne basanga ng'ekibuga ekyo okuva ddi kijeemera bakabaka, kisitukamu obujagalalo n'okutabangula abantu. |
| 20 |
| Yeruzaalemu yafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga ensi eyo yonna eri Emitala w'Omugga, nga basasulwa omusolo omugereke n'ogw'ekikungo n'empooza. |
| 21 |
| Muyise mangu ekirangiriro abantu abo bayimirize okuzimba; baleme kwongera kuzimba kibuga ekyo okutuuka nga waliwo ekirangiriro kye mpisizza. |
| 22 |
| Mwekkaanye, ensobi eno temugigayaalirira. Lwaki akabi kano kandyeyongedde ne kagootaanya obwakabaka?” |
| 23 |
| Ekiwandiiko ky'ebbaluwa ya kabaka Arutakesasuta olwasomerwa Rekumu munnamateeka omukulu, ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe ne bagenda bunnambiro eri Abayudaaya mu Yeruzaalemu ne babakaka n'amaanyi okuyimiriza okuzimba. |
| 24 |
| Bwe gutyo omulimu gw'okuzimba Ekiggwa kya Katonda ne guyimirira; gwayimirira okutuusa mu mwaka ogwokubiri ogw'obwakabaka bwa Dariyo kabaka wa Buperusi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/ezra/004.mp3
10
4