Awo bannabbi, Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne balagulira Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baabalagulirira.
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n'agolokoka ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne batanula okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: era wamu nabo waaliwo bannabbi ba Katonda nga babayamba.
Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba bwe batyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?
Naye amaaso ga Katonda waabwe gaali ku bakadde b'Abayudaaya, ne batabalekesaayo okutuusa ekigambo lwe kirituuka eri Daliyo eby'okuddamu ne bizzibwa mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo.
Kabaka ategeere nga twajja mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti giteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gugenda nga gweyongera n'okunyiikira mu mikono gyabwe.
Kale ne baddamu bwe batyo nti Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda emyaka giri emingi kabaka wa Isiraeri omukulu gye Yazimba n'amala.
Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: kale okuva ku biro ebyo na buli kati nga bagizimba, era naye tennaba kuggwa.
Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika lya kabaka eriri eyo e Babulooni, oba nga bwe biri bwe bityo, ng'etteeka lyateekebwa erya Kuulo kabaka okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.