Ezera oyo n'ayambuka ng'ava e Babulooni; era yali muwandiisi mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa; kabaka n'amuwa byonna bye yasaba, olw'omukono gwa Mukama Katonda we ogwali ku ye.
Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka ne ku bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abaggazi ne Banesinimu ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Alutagizerugizi kabaka.
Kubanga ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye kwe yasookera okwambuka okuva e Babulooni, ne ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okutaano kwe yatuukira e Yerusaalemi, olw'omukono omulungi ogwa Katonda we ogwali ku ye.
Era ebbaluwa eno yaggibwa mu bbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona, omuwandiisi, omuwandiisi w'ebigambo eby'ebiragiro bya Mukama era ow'amateeka eri Isiraeri.
Nteeka etteeka bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe ddala okugenda e Yerusaalemi, bagende naawe.
ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi;
kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino ente, endiga ennume, abaana b'endiga, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi.
Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyiikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.
era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka, n'abateesa naye ne mu maaso g'abakulu bonna aba kabaka ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nange.