Era bano gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, era kuno kwe kuzaalibwa kw'abo abaayambuka nange okuva e Babulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka.
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira ne tumalayo ennaku ssatu: ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi.
Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, ne Erunasani, ne Nasani, ne Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu: era ne Yoyalibu ne Erunasani, abayigiriza.
Ne mbatuma okugenda eri Iddo, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbabuulira bye baba bagamba Iddo ne baganda be Abanesinimu, mu kifo ekyo Kasifiya, baleete gye tuli abaweereza ab'omu nnyumba ya Katonda waffe.
Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana;
Awo ne nnangirira okusiiba eyo, ku mugga Akava, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, okunoonya gy'ali ekkubo eggolokofu, eryaffe, era ery'abaana baffe abato, era ery'ebintu byaffe byonna.
Mutunule mubikuume okutuusa lwe mulibipima mu maaso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nnyumba ya Mukama.
Awo ne tuvaayo ku mugga Akava ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye okugenda e Yerusaalemi: n'omukono gwa Katonda waffe gwali ku ffe, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omuteezi mu kkubo.
Awo ku lunaku olw'okuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe okubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona; era wamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era wamu nabo waaliwo Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi;
Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe gye baagoberwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, abaana b'endiga nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.