Awo ebigambo ebyo bwe byakolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli.
Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi.
Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange;
ne njogera nti Ai Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde okukira omutwe gwaffe, n'omusango gwaffe gukuze gutuuse mu ggulu.
Okuva ku nnaku za bajjajjaffe nga tuzza musango munene nnyo ne leero; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero.
Kubanga tuli basibe; naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, naye atwongeddeko okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b'e Buperusi, okutuwa okuweeraweera, okusimba ennyumba ya Katonda waffe n'okuddaabiriza ebyayo ebyagwa n'okutuwa bbugwe mu Yuda ne mu Ycrusaalemi.
Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero: laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'ekyo.