Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.
Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.
ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye:
okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.
naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.
Ai Mukama, nkwegayiidde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okw’abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.)