Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.
Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka:
Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya: ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe kugabiranga baganda baabwe.
Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya.
Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti.
Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti.
Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini.
Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.