Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge.
Kabaka n'aŋŋamba nti Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw'omu mutima. Awo ne ndyoka ntya nnyo.
Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?
Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.
Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala.
Ne nvaamu kiro mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro.
Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugolokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi
Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka?
Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.