Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwalirangako mu maaso ge.
Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.”
Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi, so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagalanga.
Ne nvaamu kiro nga nfulumira mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro.
Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti, “Kigambo ki kino kye mukola? Mwagala okujeemera kabaka?”
Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti, “Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kye tuliva tugolokoka ne tuzimba; naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”