Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyumba ye.
Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwaiibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe.
Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babawoola ne babagoba mu bwakabona.
obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe asanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.
Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eri omulimu. Tirusaasa n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi, ebibya amakumi ataano, ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu.
Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu obukumi bubiri, ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bikumi bibiri.
Awo bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'abamu ku bantu n'Abanesinimu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu Bibuga byabwe. Awo omwezi gw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga byabwe.