Ne mbagamba nti, “Enzigi za Yerusaalemi teziggulwangawo ng'omusana tegunnakaalaama; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba, era mussengawo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, ng'ayolekera ennyumba ye.”
Bano be bantu ab'essaza abaakomawo okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana (138).
Era bano be baava mu bibuga: Terumeera, Terukalusa, Kerubu, Yaddoni, ne Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
Ne ku bakabona waaliwo bano: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe bonna baali kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337) era baalina abasajja n'abakazi abayimbi bibiri mu ana mu bataano (245).
Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi (1,000), ebibya ataano (50), ebyambalo bya bakabona bitaano mu asatu (530).
Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000), ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bibiri (2,200).
Awo bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu aba bulijjo, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu bibuga byabwe. Awo omwezi ogw'omusanvu okutuuka, nga abaana ba Isiraeri bali mu bibuga byabwe.