Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri.
Ezera kabona n’aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne bonna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu.
Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
Awo ku lunaku olw'okubiri ne wakuŋŋaana emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi, awali Ezera omuwandiisi, okutega amatu eri ebigambo eby'amateeka.
bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.
Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, buli muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu.
Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.