Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe.
Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.
Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza.
n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.
Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w'amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo.
n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi.
Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n'emisango gyo bye wategeeza eri bo.
Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebibi.
Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.
Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.