Awo ku lunaku olw'abiri mu ennya (24) olw'omwezi guno abaana ba Isiraeri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.
Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe okumala ekitundu ekyokuna eky'olunaku; n'ekitundu ekyokuna ekirala ne bakimala nga baatula ebibi byabwe, era ne basinza Mukama Katonda waabwe.
'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja nga abayita ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
ne bagaana okugonda, so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne beerondera omukulembeze nga bajeemye okubazzaayo mu buddu bwabwe; naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali, kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani.
Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
Ne bawamba ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne batwala ennyumba ezajjula ebirungi byonna, n'enzizi ezisimiddwa, ensuku ez'emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo; awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.
Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go emabega waabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebivvoola ennyo.
n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go. Naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, so nga omuntu bw'agikola anaabanga mulamu gyo ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo wadde okulabula kwo kwe wabalabulanga.
Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri.
Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe; era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.”