Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Kabaka Ahaswero n'asalira abantu ab'oku lukalu n'ab'omu bizinga eby'omu nnyanja omusolo. |
| 2 |
| Ebyo byonna bye yakola ebiraga obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebiraga nga bwe yatuusa Moruddekaayi ku bukulu, biwandiikiddwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka b'e Perusiya n'e Mediya. |
| 3 |
| Moruddekaayi Omuyudaaya, ye yaddiriranga Kabaka Ahaswero mu kitiibwa, era yali mukulu mu Bayudaaya. Bayudaaya banne baamwagalanga, kubanga yakoleranga abantu be ebirungi, era ng'ayagaliza ab'eggwanga lye emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/esther/010.mp3
10
10