EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja. |
| 2 |
| Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebitegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyo mumirembe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi? |
| 3 |
| Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya ye yaddiriranga kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era nga akkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagaliza abantu be obulamu obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/esther/010.mp3
10
10