era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe:
Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakazi.
Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa eri ye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.
kale bw'atyo omuwala n’alyoka ajja eri kabaka, kyonna kye yayagala n'akiweebwa okugenda naye ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.
Yagenda akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.
Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okukwata kabaka Akaswero.
Awo ekigambo ekyo bwe baakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka.