N'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu manso ge, n'ekigambo ekyo bwe kinaafaanana eky'ensonga mu maaso ga kabaka, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yateesa, ze yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka:
Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiike ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukijjulula.
Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, gwe mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'amakumi abiri mu ssatu; era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.
Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa ku kiwandiike, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.