Awo kabaka n'agamba Eseza kaddulubaale nti Abayudaaya basse bazikirizza abasajja ebikumi bitaano mu lubiri w’e Susani ne batabani ba Kamani ekkumi; kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? era onookiweebwa: oba kiki kye weegayirira nate? era kinaakolebwa.
Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne baba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne batta ku bo abaabakyawa obukumi musanvu mu enkumi ttaano; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
Ebyo byabaawo ku lunaku lw'ekkumi n'essatu olw'omwezi Adali; ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya ne bawummula; ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'enya; ne ku lunaku lwagwo w'ekkumi n'ettaano ne bawummula ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
naye ekigambo bwe kyatuuka mu maaso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.
era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo okubuna emirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okubula eri ezzadde lyabwe.
N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu amakumi abiri mu musanvu ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,
okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Eseza kaddulubaale bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.