Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Waaliwo omusajja mu nsi ya Wuzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja oyo yali muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, assaamu Katonda ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. |
| 2 |
| Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu. |
| 3 |
| Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, n'emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja oyo ye yali asinga obugagga mu bantu b'ebuvanjuba bonna. |
| 4 |
| Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo mu mpalo, ne batumya bannyinaabwe abasatu, ne babayita okulya n'okunywa nabo. |
| 5 |
| Ennaku ez'embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n'abatukuza. Yagolokokanga mu makya, n'aweerayo buli omu ku bo ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baliko ebibi bye baakoze, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga bulijjo. |
| 6 |
| Awo olunaku lwali lumu, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani naye n'ajjira mu bo. |
| 7 |
| Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.” |
| 8 |
| Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, ne yeewala okukola ebibi.” |
| 9 |
| Awo Sitaani n'addamu Mukama nti: “Yobu akussizaamu bwereere ekitiibwa? |
| 10 |
| Omukoledde olukomera okumwetooloola, ye n'amaka ge, n'ebibye byonna by'alina. By'akola obiwadde omukisa, n'obugagga bwe bweyongedde obungi mu nsi. |
| 11 |
| Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja kukwegaana ng'olaba.” |
| 12 |
| Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina, biri mu buyinza bwo. Kyokka ye tomukolako kabi.” Awo Sitaani n'ava mu maaso ga Mukama. |
| 13 |
| Awo olunaku lwali lumu, batabani ba Yobu ne bawala be, bwe baali nga baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, |
| 14 |
| omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti: “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, zirya, |
| 15 |
| Abasabeya ne bazizinda, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” |
| 16 |
| Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, ne gwokya endiga n'ababadde bazirunda, ne gubazikiriza. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” |
| 17 |
| Yali ng'akyayogera, omulala n'agamba nti: “Abakaludaaya, nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu, bazinze eŋŋamiya, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” |
| 18 |
| Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, |
| 19 |
| omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” |
| 20 |
| Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ekyambalo kye olw'okunakuwala, n'amwa omutwe gwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda. |
| 21 |
| N'agamba nti: “Mu lubuto lwa mmange navaamu ndi mwereere, era ndifa ndi mwereere. Mukama ye yampa ebyo, era Mukama ye aggyeewo. Kale Mukama yeebazibwe.” |
| 22 |
| Mu ebyo byonna ebyagwawo, Yobu teyayonoona, wadde okunenya Katonda. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/001.mp3
42
1