|
| 1 |
|
| Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange. |
|
| 2 |
|
| Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange. |
|
| 3 |
|
| Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi? |
|
| 4 |
|
| Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba? |
|
| 5 |
|
| Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu, |
|
| 6 |
|
| N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange, |
|
| 7 |
|
| Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo? |
|
| 8 |
|
| Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza. |
|
| 9 |
|
| Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu? |
|
| 10 |
|
| Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu? |
|
| 11 |
|
| Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa. |
|
| 12 |
|
| Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange. |
|
| 13 |
|
| Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe: |
|
| 14 |
|
| Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange. |
|
| 15 |
|
| Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba. |
|
| 16 |
|
| Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi. |
|
| 17 |
|
| Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange. |
|
| 18 |
|
| Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye: |
|
| 19 |
|
| Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana. |
|
| 20 |
|
| Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono, |
|
| 21 |
|
| Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa; |
|
| 22 |
|
| Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza. |
|
|
|
|