|
| 1 |
|
| “Neetamiddwa obulamu! Nja kwemulugunya lwatu, njatule ennaku endi ku mwoyo. |
|
| 2 |
|
| Nja kugamba Katonda nti: ‘Tonsalira musango kunsinga. Naye mmanyisa ky'onvunaana. |
|
| 3 |
|
| Olaba nga kirungi okukambuwala n'okunyooma ggwe wennyini bye watonda, n'osanyukira amagezi g'ababi? |
|
| 4 |
|
| Ggwe ebintu obiraba ng'omuntu bw'abiraba? Oba obitegeera ng'abantu bwe babitegeera? |
|
| 5 |
|
| Ennaku z'owangaala ziri ng'ez'abantu abafa? Oba emyaka gy'obulamu bwo giri ng'egy'omuntu? |
|
| 6 |
|
| Lwaki oyagala okubuuliriza ku bibi byange, n'okunoonyereza ku kwonoona kwange? |
|
| 7 |
|
| Newaakubadde omanyi nga siriiko kye nvunaanibwa, tewali ayinza kumponya ng'anzigya mu mikono gyo. |
|
| 8 |
|
| “ ‘Ggwe wennyini ggwe wammumba n'emikono gyo n'onteekawo. Ate kaakano onkyukidde okunsaanyaawo. |
|
| 9 |
|
| Jjukira nga wammumba mu bbumba. Ononsekula onzizeeyo mu nfuufu? |
|
| 10 |
|
| Tewanjiwa ng'amata mu lubuto lwa mmange, n'ommumba ng'ekitole ky'omuzigo? |
|
| 11 |
|
| Wataba amagumba gange n'ebinywa n'ogabikkako ennyama n'olususu. |
|
| 12 |
|
| Wampa obulamu era n'onjagala. Olabiridde bulungi obulamu bwange. |
|
| 13 |
|
| “ ‘Naye waliwo bino bye wakweka nga bya kyama. Mmanyi nga wali obitegeka okuntuukako. |
|
| 14 |
|
| Bwe nkola ekibi, onneetegereza, Era tolikinsonyiwa. |
|
| 15 |
|
| Bwe mba omubi nga zinsanze! Bwe nkola ekituufu nkoteka omutwe gwange ne nzijula okuswala, ne nnyenjebuka olw'okubonaabona. |
|
| 16 |
|
| Bwe nkola eky'okwenyumiririzaamu obeera ng'empologoma n'onjigga. Okola n'ekyamagero okunnumya. |
|
| 17 |
|
| Onnumba buggya okumbonyaabonya. Weeyongera okunsunguwalira. Onsindikira amagye mu bibinja n'ebibinja. |
|
| 18 |
|
| “ ‘Kale lwaki waleka ne nzaalibwa? Nandifudde nga tewannaabawo n'omu andabako. |
|
| 19 |
|
| Olwandivudde mu lubuto ne banziikirawo, ne mba ng'atabangawo. |
|
| 20 |
|
| Obulamu bwange tebusigazizzaayo ennaku ntono? Ndeka nsanyukemu akatono, |
|
| 21 |
|
| nga sinnagenda mu nsi eyo ey'ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte gye sigenda kuva. |
|
| 22 |
|
| Ensi ey'ekisiikirize n'obutabangufu ekitangaala gye kiri ng'ekizikiza.’ ” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/010.mp3
42
10