|
| 1 |
|
| “Nneetamiddwa obulamu bwange! Naafukumula okwemulugunya kwange, Njatule ennaku endi ku mwoyo. |
|
| 2 |
|
| N'agamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Naye ntegeeza ky'onvunaana. |
|
| 3 |
|
| Olaba nga kirungi ggwe okukambuwala, N'okunyooma gwe bye watonda, Naye n'osanyukira okuteesa kw'ababi? |
|
| 4 |
|
| Gwe olina amaaso nga ag'omuntu? Ggwe olaba ng'omuntu bwa laba? |
|
| 5 |
|
| Ennaku zo ziriŋŋaanga ez'abantu? Oba emyaka gyo giri ng'egy'omuntu? |
|
| 6 |
|
| Lwaki oyagala okubuuliriza ku bibi byange, N'okunoonyereza ku kwonoona kwange? |
|
| 7 |
|
| Newakubadde ng'omanyi nga siriiko musango, So tewali n'omu ayinza okumponya mu mukono gwo? |
|
| 8 |
|
| Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Ate kaakano onkyukidde okunzikiriza. |
|
| 9 |
|
| Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba mu bbumba, Era onoonsekula onzizeeyo nate mu nfuufu? |
|
| 10 |
|
| Tewanjiwa ng'amata mu lubuto lwa mmange, N'ommumba ng'ekitole ky'omuzigo? |
|
| 11 |
|
| Wannyambaza ennyama n'olususu, N'ongatta wamu n'amagumba n'ebinywa. |
|
| 12 |
|
| Wampa obulamu n'okuganja, Okufaayo kwo gyendi kwe kwakuuma omwoyo gwange. |
|
| 13 |
|
| Naye waliwo bye wakweka nga bya kyama. Ekyo bw'otyo bwe wakyagala. |
|
| 14 |
|
| Bwe nnyonoona, oneetegereza, Era tolinziggyako butali butuukirivu bwange. |
|
| 15 |
|
| Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, sisobola kuyimusa mutwe gwange, Mba nzijudde obuswavu. Nga ntunuulira okubonaabona kwange. |
|
| 16 |
|
| Era bwe negulumiza olw'ekyo kye mba nkoze, onjigga ng'empologoma. Era n'okola eby'amagero okunnumya. |
|
| 17 |
|
| Onnumba buggya okumbonyaabonya, Weeyongera okunyiigira, Oyongera okuteekateeka okunnumba nate. |
|
| 18 |
|
| Kale lwaki waleka ne nzaalibwa? Nnandifudde nga tewannaabaawo n'omu andabako. |
|
| 19 |
|
| Nnandibadde ng'atabangawo; Okuva mu lubuto, bandiziikiddewo. |
|
| 20 |
|
| Ennaku ez'obulamu bwange si ntono? Kale lekera awo, Ndeka nsanyukemu katono, |
|
| 21 |
|
| Nga sinnagenda eyo gye sityenga kukomawo, Ensi ey'ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte. |
|
| 22 |
|
| Ensi ey'ekisiikirize n'obutabangufu, Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era ekitangaala kyayo kiri ng'ekizikiza.” |
|
|
|
|