|
| 1 |
|
| Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu? Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango? |
|
| 3 |
|
| Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa? Oduule bw’otyo wabulewo akunenya? |
|
| 4 |
|
| Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’ |
|
| 5 |
|
| Naye, singa Katonda ayogera, singa abikkula akamwa ke n’akuddamu, |
|
| 6 |
|
| n’akubikkulira ebyama by’amagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo. |
|
| 7 |
|
| “Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo? |
|
| 8 |
|
| Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola? Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya? |
|
| 9 |
|
| Obuwanvu bwabyo businga ensi era bugazi okusinga ennyanja. |
|
| 10 |
|
| “Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya? |
|
| 11 |
|
| Mazima ddala amanya abantu abalimba. Bw’alaba ebibi, tabifaako? |
|
| 12 |
|
| Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa. |
|
| 13 |
|
| “Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali, n’ogolola emikono gyo gy’ali, |
|
| 14 |
|
| singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo, n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo, |
|
| 15 |
|
| olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi, era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya. |
|
| 16 |
|
| Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda. |
|
| 17 |
|
| Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu, n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya. |
|
| 18 |
|
| Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi; olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe. |
|
| 19 |
|
| Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa. |
|
| 20 |
|
| Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa, era tebalisobola kuwona, essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.” |
|
|
|
|