|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe. |
|
| 3 |
|
| Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo? |
|
| 4 |
|
| Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa. |
|
| 5 |
|
| Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe. |
|
| 6 |
|
| Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe. |
|
| 7 |
|
| Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira: |
|
| 8 |
|
| Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola. |
|
| 9 |
|
| Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo? |
|
| 10 |
|
| Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna. |
|
| 11 |
|
| Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago? |
|
| 12 |
|
| Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi. |
|
| 13 |
|
| Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera. |
|
| 14 |
|
| Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo. |
|
| 15 |
|
| Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi. |
|
| 16 |
|
| Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe. |
|
| 17 |
|
| Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru. |
|
| 18 |
|
| Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba. |
|
| 19 |
|
| Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi. |
|
| 20 |
|
| Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe. |
|
| 21 |
|
| Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi. |
|
| 22 |
|
| Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa. |
|
| 23 |
|
| Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo. |
|
| 24 |
|
| Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo. |
|
| 25 |
|
| Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu. |
|
|
|
|