|
| 1 |
|
| Awo Yobu n’amuddamu nti, |
|
| 2 |
|
| “Awatali kubuusabuusa muli bantu. Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa. |
|
| 3 |
|
| Naye nange nnina amagezi ntegeera, temunsinga. Ani atabimanyi ebyo byonna? |
|
| 4 |
|
| Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango! |
|
| 5 |
|
| Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana, ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu. |
|
| 6 |
|
| Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe. |
|
| 7 |
|
| Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira. |
|
| 8 |
|
| Oba yogera n’ettaka linaakusomesa oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola. |
|
| 9 |
|
| Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo? |
|
| 10 |
|
| Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna. |
|
| 11 |
|
| Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lukomba ku mmere? |
|
| 12 |
|
| Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye? Okuwangaala tekuleeta kutegeera? |
|
| 13 |
|
| Katonda y’alina amagezi n’amaanyi; y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera. |
|
| 14 |
|
| Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba; ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa. |
|
| 15 |
|
| Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja, bw’agata gazikiriza ensi. |
|
| 16 |
|
| Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi, abalimba n’abalimbibwa bonna babe. |
|
| 17 |
|
| Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu, abalamuzi n’abafuula abasirusiru. |
|
| 18 |
|
| Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe, n’abasibamu obukete. |
|
| 19 |
|
| Bakabona abatwala nga tebalina kantu, n’asuula abasajja abaanywera. |
|
| 20 |
|
| Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa, era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde. |
|
| 21 |
|
| Ayiwa ekivume ku bakungu, era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi. |
|
| 22 |
|
| Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza, n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala. |
|
| 23 |
|
| Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza; agaziya amawanga n’agasaasaanya. |
|
| 24 |
|
| Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde; n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo. |
|
| 25 |
|
| Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala; abaleetera okutagala ng’abatamiivu.” |
|
|
|
|