|
| 1 |
|
| Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera. |
|
| 2 |
|
| Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga. |
|
| 3 |
|
| Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda. |
|
| 4 |
|
| Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa. |
|
| 5 |
|
| Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi. |
|
| 6 |
|
| Muwulire nno ensonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange. |
|
| 7 |
|
| Munawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba? |
|
| 8 |
|
| Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda? |
|
| 9 |
|
| Kirungi ye okubakebera? Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye? |
|
| 10 |
|
| Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama. |
|
| 11 |
|
| Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako? |
|
| 12 |
|
| Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka. |
|
| 13 |
|
| Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire. |
|
| 14 |
|
| Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange? |
|
| 15 |
|
| Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge. |
|
| 17 |
|
| Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe. |
|
| 18 |
|
| Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu. |
|
| 19 |
|
| Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka. |
|
| 20 |
|
| Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go: |
|
| 21 |
|
| Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga. |
|
| 22 |
|
| Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu. |
|
| 23 |
|
| Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange. |
|
| 24 |
|
| Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo? |
|
| 25 |
|
| Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze? |
|
| 26 |
|
| Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange: |
|
| 27 |
|
| N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange: |
|
| 28 |
|
| Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje. |
|
|
|
|