|
| 1 |
|
| “Kale ebyo byonna nabiraba, era nabiwulira dda ne mbitegeera. |
|
| 2 |
|
| Bye mumanyi mmwe, era nange mbimanyi temunsinga. |
|
| 3 |
|
| Naye njagala njogere na Muyinzawaabyonna. Katonda gwe njagala okulaga nti siriko kye nvunaanibwa. |
|
| 4 |
|
| Kyokka mmwe mwogera bya bulimba okukweka amazima. Muli basawo abatasobola kuwonya. |
|
| 5 |
|
| Singa musirikidde ddala lwe mwandiraze bwe muli abagezi. |
|
| 6 |
|
| “Muwulirize kye ŋŋamba. Mutege amatu muwulire empoza yange. |
|
| 7 |
|
| Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, era nga muleeta eby'obulimba? |
|
| 8 |
|
| Munaasaliriza ku lulwe, muwoze omusango gwe asinge? |
|
| 9 |
|
| Binaabagendera bulungi bw'anaabakebera okubekkaanya? Munaamulimbalimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe? |
|
| 10 |
|
| Taaleme kubavunaana ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe. |
|
| 11 |
|
| Ekitiibwa kye tekiibatiise, ne kibakwasa ensisi? |
|
| 12 |
|
| Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. N'empoza yammwe temuli: emulungulwa nga bbumba. |
|
| 13 |
|
| “Musirike, muleke nze njogere. Ebinanzijira, binzijire. |
|
| 14 |
|
| Ka nneeveemu mpeeyo n'obulamu! |
|
| 15 |
|
| Oba anzita anzite, kiki kye nkyasuubirayo? Kyokka nja kuwoleza mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Era ekyo kye kinandokola. Kubanga atassaamu Katonda kitiibwa tayimirira mu maaso ge. |
|
| 17 |
|
| “Muwulirize ebigambo byange, mutegereze bye ŋŋamba. |
|
| 18 |
|
| Kale nsengese empoza yange, mmanyi nja kwejjeerera. |
|
| 19 |
|
| Ani anannumiriza omusango? Neetegese bwe guba gunsinze, okusirika era nfe. |
|
| 20 |
|
| Ompeeyo ebintu bibiri byokka olwo nneme kukwekweka. |
|
| 21 |
|
| Okumbonereza lekera awo era oleme okunkanga n'okuntiisa. |
|
| 22 |
|
| Kale ggwe sooka ompite, nze mpitabe. Oba oleke nze njogere, ggwe onziremu. |
|
| 23 |
|
| Ensobi zange n'okuwaba kwange bye biruwa? Ntegeeza obujeemu bwange n'ekibi kyange. |
|
| 24 |
|
| “Lwaki onneekweka n'ompita omulabe wo? |
|
| 25 |
|
| Onootiisa nze akakoola akatwalibwa embuyaga? Oyigganye nze akasasiro akakaze? |
|
| 26 |
|
| Onnumiriza emisango eminene n'ogiwandiika. Onvunaana ensobi ez'omu buvubuka bwange. |
|
| 27 |
|
| Osiba ebigere byange mu nvuba. Olondoola buli kigere kye nsitula, olamba buli we nninnya. |
|
| 28 |
|
| Naye nseebengerera ng'ekintu ekivunda ne kiggwaawo, oba ng'ekyambalo ekiriibwa ennyenje. |
|
|
|
|