|
| 1 |
|
| “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera. |
|
| 2 |
|
| Kye mumanyi nange kye mmanyi; siri wa wansi ku mmwe. |
|
| 3 |
|
| Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna, era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda. |
|
| 4 |
|
| Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna! |
|
| 5 |
|
| Kale singa musirika! Olwo lwe mwandibadde n’amagezi. |
|
| 6 |
|
| Muwulire kaakano endowooza yange, muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange. |
|
| 7 |
|
| Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera eby’obulimba? |
|
| 8 |
|
| Munaamulaga ng’ataliiko luuyi, munaamuwoleza ensonga ze. |
|
| 9 |
|
| Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi? Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu? |
|
| 10 |
|
| Tayinza butakunenya, singa osaliriza mu bubba. |
|
| 11 |
|
| Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza? Entiisa ye teyandikuguddeko? |
|
| 12 |
|
| Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba. |
|
| 13 |
|
| Musirike nze njogere; kyonna ekinantukako kale kintuukeko. |
|
| 14 |
|
| Lwaki neeteeka mu mitawaana, obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange? |
|
| 15 |
|
| Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange, kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge! |
|
| 17 |
|
| Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza; amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba. |
|
| 18 |
|
| Kaakano nga bwe ntegese empoza yange, mmanyi nti nzija kwejeerera. |
|
| 19 |
|
| Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa? Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe. |
|
| 20 |
|
| Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda, awo sijja kukwekweka. |
|
| 21 |
|
| Nzigyako omukono gwo, olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga. |
|
| 22 |
|
| Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu. |
|
| 23 |
|
| Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange. |
|
| 24 |
|
| Lwaki okweka amaaso go, n’onfuula omulabe wo? |
|
| 25 |
|
| Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga? Onooyigga ebisasiro ebikaze? |
|
| 26 |
|
| Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka. |
|
| 27 |
|
| Oteeka ebigere byange mu nvuba, era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange. |
|
| 28 |
|
| Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu, ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/013.mp3
42
13