|
| 1 |
|
| Kale ebyo byonna nnabiraba, Era nnabiwulira dda ne mbitegeera. |
|
| 2 |
|
| Bye mumanyi era nange mbimanyi, Mmwe temunsinga. |
|
| 3 |
|
| Mazima njagala okwogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Njagala okwanjulira Katonda ensonga yange. |
|
| 4 |
|
| Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abatasobola kuwonya. |
|
| 5 |
|
| Singa musirikidde ddala! Lwe mwandiraze bwe mulina amagezi. |
|
| 6 |
|
| Muwulirize kye ŋŋamba, Mutege amatu muwulirize empoza yange. |
|
| 7 |
|
| Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, Era nga muleeta eby'obulimba? |
|
| 8 |
|
| Munaasaliriza ku lulwe? Munaawolereza Katonda? |
|
| 9 |
|
| Mulowooza munaaba bulungi singa Katonda abakebera? Munaamulimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe? |
|
| 10 |
|
| Taaleme kubanenya, Ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe. |
|
| 11 |
|
| Ekitiibwa kye tekiibatise, N'ensisi ye n'ebagwako? |
|
| 12 |
|
| Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. Ebigambo byammwe bimetentuka nga bbumba. |
|
| 13 |
|
| Musirike, mundeke njogere, Ebinanzijira, binzijire. |
|
| 14 |
|
| Obulamu bwange sibutwala nga kintu, Ka nneeveemu mpeeyo obulamu bwange! |
|
| 15 |
|
| Katonda anzite, sikyalina kye nsuubira. Naye nja kuwoleza ensonga zange mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Era ekyo kye kinandokola, Kubanga omusajja atatya Katonda tayinza kuyimirira |
|
| 17 |
|
| Muwulirize ebigambo byange, Mufumiitirize kw'ebyo bye njogera. |
|
| 18 |
|
| Maze okusengeka empoza yange, Mmanyi nja kwejjerezebwa. |
|
| 19 |
|
| Ani aneesowolayo okunnumiriza omusango? Bwabayo kaakano, n'asirika era nfe. |
|
| 20 |
|
| Mpaayo ebintu bibiri byokka, Olwo nneme okukwekweka. |
|
| 21 |
|
| Nzigyako omukono gwo ogumbonereza, Era lekerawo okunkanga n'okuntiisa. |
|
| 22 |
|
| Nkoowoola nange nnaayitaba, Oba leka njogere, naawe onziremu. |
|
| 23 |
|
| Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange bye biruwa? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange. |
|
| 24 |
|
| Lwaki oneekweka, N'ompita omulabe wo? |
|
| 25 |
|
| Onootiisa nze akakoola akatwalibwa empewo? Era onooyigganya nze akasasiro akakaze? |
|
| 26 |
|
| Ompandiiseko ebigambo ebikaawa, Era onvunaana okwonoona okw'omu buto bwange. |
|
| 27 |
|
| Osiba ebigere byange mu nvuba, era olamba buli we mpita, Olondoola ebigere byange yonna gye biyita. |
|
| 28 |
|
| Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivunda ne kiggwaawo, Oba ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje. |
|
|
|
|