|
| 1 |
|
| Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike. |
|
| 2 |
|
| Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera. |
|
| 3 |
|
| Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe? |
|
| 4 |
|
| Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu. |
|
| 5 |
|
| Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako; |
|
| 6 |
|
| Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera. |
|
| 7 |
|
| Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa. |
|
| 8 |
|
| Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi; |
|
| 9 |
|
| Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe. |
|
| 10 |
|
| Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa? |
|
| 11 |
|
| Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira; |
|
| 12 |
|
| Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe. |
|
| 13 |
|
| Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira! |
|
| 14 |
|
| Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze. |
|
| 15 |
|
| Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo. |
|
| 16 |
|
| Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange? |
|
| 17 |
|
| Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange. |
|
| 18 |
|
| Era mazima olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo; |
|
| 19 |
|
| Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu. |
|
| 20 |
|
| Ennaku zonna ng'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika. |
|
| 21 |
|
| Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali. |
|
| 22 |
|
| Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala. |
|
|
|
|