|
| 1 |
|
| “Omuntu azaalibwa omukazi, abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana. |
|
| 2 |
|
| Amulisa ng’ekimuli n’awotoka; abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera. |
|
| 3 |
|
| Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo? Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango? |
|
| 4 |
|
| Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu! |
|
| 5 |
|
| Ennaku z’omuntu zaagererwa, wagera obungi bw’emyezi gye era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka. |
|
| 6 |
|
| Kale tomufaako muleke yekka, okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi. |
|
| 7 |
|
| “Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka: Bwe gutemebwa, guloka nate, era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa. |
|
| 8 |
|
| Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka, |
|
| 9 |
|
| naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa ne kireeta amatabi ng’ekisimbe. |
|
| 10 |
|
| Naye omuntu afa era n’agalamizibwa, assa ogw’enkomerero n’akoma. |
|
| 11 |
|
| Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo, |
|
| 12 |
|
| bw’atyo omuntu bw’agalamira, era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo, abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe. |
|
| 13 |
|
| “Singa kale onkweka emagombe era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera n’onzijukira! |
|
| 14 |
|
| Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu? Ennaku zange zonna ez’okuweereza nnaalindanga okuwona kwange kujje. |
|
| 15 |
|
| Olimpita nange ndikuyitaba; olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda. |
|
| 16 |
|
| Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange, naye tolyekaliriza bibi byange. |
|
| 17 |
|
| Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo; olibikka ku kibi kyange. |
|
| 18 |
|
| “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo, era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo, |
|
| 19 |
|
| ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi; bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu. |
|
| 20 |
|
| Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala; okyusa enfaanana ye n’omugoba. |
|
| 21 |
|
| Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya, bwe bagwa, takiraba. |
|
| 22 |
|
| Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira ne yeekungubagira yekka.” |
|
|
|
|