|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Ow'amagezi yandizzeemu n'okumanya okutaliimu, N'ajjuza olubuto lwe n'embuyaga ez'ebuvanjuba? |
|
| 3 |
|
| Yandiwakanye n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa, Oba ng'ayogera ebitaliiko kye biyinza? |
|
| 4 |
|
| Weewaawo, omalawo okutya, Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge. |
|
| 5 |
|
| Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya. |
|
| 6 |
|
| Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga so si nze; Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe. |
|
| 7 |
|
| Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo? |
|
| 8 |
|
| Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw'omu kyama? Era weeyita wa magezi wekka omu? |
|
| 9 |
|
| Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Kiki ky'otegeera ekitali mu ffe? |
|
| 10 |
|
| Abameze envi n'abakadde ennyo bali wamu naffe, Abasinga ennyo kitaawo obukadde. |
|
| 11 |
|
| Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola? |
|
| 12 |
|
| Omutima gwo gukutwalira ki? N'amaaso go gatemeza ki? |
|
| 13 |
|
| N'okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda, N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko. |
|
| 14 |
|
| Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N'oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu? |
|
| 15 |
|
| Laba, teyeesiga batukuvu be; Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi! |
|
| 17 |
|
| Naakwolesa, mpulira; N'ekyo kye ndabye kye nnaabuulira: |
|
| 18 |
|
| (Ab'amagezi kye baabuuliranga Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka; |
|
| 19 |
|
| Abaaweebwa ensi bokka, So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:) |
|
| 20 |
|
| Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna, Gwe muwendo gw'emyaka egyamuterekerwa omujoozi. |
|
| 21 |
|
| Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako: |
|
| 22 |
|
| Takkiriza ng'alidda okuva mu kizikiza, Era ekitala kimulindirira: |
|
| 23 |
|
| Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe. |
|
| 24 |
|
| Okweraliikirira n'obubalagaze bimutiisa; Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana: |
|
| 25 |
|
| Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda, N'agirira Omuyinza w'ebintu byonna eby'ekyejo; |
|
| 26 |
|
| Amufubutukirako ng'akakanyazizza ensingo ye, N'amakundi amanene ag'oku ngabo ze: |
|
| 27 |
|
| Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze; |
|
| 28 |
|
| Era yabeeranga mu bibuga eby'amatongo, Mu nnyumba omutali muntu, Ezaali zaagala okufuuka ebifunvu. |
|
| 29 |
|
| Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka. |
|
| 30 |
|
| Taavenga mu kizikiza; Omuliro gunaakazanga amatabi ge, Era anaavangawo olw'omukka ogw'omu kamwa ke. |
|
| 31 |
|
| Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye. |
|
| 32 |
|
| Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira, N'ettabi lye teriggumizenga. |
|
| 33 |
|
| Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng'omuzabbibu, Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng'omuzeyituuni. |
|
| 34 |
|
| Kubanga ekibiina ky'abatatya Katonda kinaabanga kigumba, Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi. |
|
| 35 |
|
| Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu, N'olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa. |
|
|
|
|