|
| 1 |
|
| Awo Elifaazi Omutamani n'addamu ng'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu. Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo. |
|
| 3 |
|
| Tawalaaza mpaka zitalina mugaso. Tayogera bigambo bitavaamu kalungi. |
|
| 4 |
|
| Ojja kuziyiza abantu okussaamu Katonda ekitiibwa, n'okugenda mu maaso ge okumusinza. |
|
| 5 |
|
| Ebibi byo ye nsibuko y'ebyo by'oyogera. Era okozesa lulimi lwa bukumpanya. |
|
| 6 |
|
| Akamwa ko ke kakusalira omusango okukusinga, sso si nze. Emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza. |
|
| 7 |
|
| “Abantu bonna ogamba ggwe wabasooka okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ng'ensozi tezinnabaawo? |
|
| 8 |
|
| Wawulirizaako ggwe Katonda bye yateesa mu kyama? Ggwe wageziwala wekka omu? |
|
| 9 |
|
| Kiki ky'omanyi kye tutamanyi? Otegeera biki ebyatulema? |
|
| 10 |
|
| Ffe tuli wamu n'ab'envi n'abakadde ennyo, abakulu n'okusinga kitaawo. |
|
| 11 |
|
| Katonda by'anaakukolera okukugumya by'ogaya nti tebimala? N'ebigambo ebikkakkamu bye tukubuulira ku lulwe by'onyooma? |
|
| 12 |
|
| Lwaki ocamuukiridde? Lwaki otunuza bukambwe, |
|
| 13 |
|
| n'osunguwalira Katonda n'oyogera ebiri ng'ebyo? |
|
| 14 |
|
| Omuntu ayinza okuba omulongoofu? Ani eyazaalibwa omukazi Katonda gw'abala nti mutuufu? |
|
| 15 |
|
| Olaba Katonda teyeesiga wadde bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Alabisa kale omuntu omwonoonefu era entagasa, eyeekatankira ebyonoono nga bw'anywa amazzi! |
|
| 17 |
|
| “Ntegera amatu njogere, nze nkubuulire bye ndabye; |
|
| 18 |
|
| n'abagezi bye boogedde nga babiggya ku bajjajjaabwe, |
|
| 19 |
|
| abaaweebwa ensi eno bokka nga tebali wamu na bagwira. |
|
| 20 |
|
| Omubi ateganyizibwa ennaku zonna. Oyo anyigiriza abalala, abonaabona obulamu bwe bwonna. |
|
| 21 |
|
| Awulira mu matu ge amaloboozi ag'entiisa. Lw'afunyeeko akalembereza lw'alirumbibwa abanyazi. |
|
| 22 |
|
| Tasuubira kuva mu kizikiza. Era okuttibwa kw'alindirira. |
|
| 23 |
|
| Abungeeta anoonye k'anaalya nga yeebuuza gy'anaakaggya. Amanyi nti olwa kazigizigi kati lumukeeredde. |
|
| 24 |
|
| Ennaku n'obuyinike bimutiisa nga kabaka ow'amaanyi bw'atiisa be yeeteeseteese okulumba. |
|
| 25 |
|
| Kubanga agalulidde Katonda ekikonde ky'amufunyidde, n'asoomoza Omuyinzawaabyonna. |
|
| 26 |
|
| Abulira mu ngabo ye ennene, agende amulumbagane. |
|
| 27 |
|
| Kubanga mugevvu mu maaso n'emabega agezze akabina. |
|
| 28 |
|
| Era abeera mu bibuga ebisengukiddwamu. Ennyumba asula mu bifulukwa ebisuliridde okugwa. |
|
| 29 |
|
| Obugagga bwe buliyita buyisi, talimala nabwo kiseera kiwanvu. Naye yennyini taliwangaala. |
|
| 30 |
|
| Walumbe alimwefuga mu kizikiza. Aliba ng'amatabi g'omuti agababuddwa omuliro, n'ebimuli byagwo ebitwalibwa embuyaga. |
|
| 31 |
|
| Bwe yeesiga ebitalina mugaso aba yeerimba, kubanga alisasulwamu ebyo. |
|
| 32 |
|
| Alikala mangu ng'ettabi, n'ataddamu kuggumiza. |
|
| 33 |
|
| Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; era ng'omuzayiti ogukunkumula ekimuli. |
|
| 34 |
|
| Kubanga abatassaamu Katonda kitiibwa banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi. |
|
| 35 |
|
| Bakola bya kabi ebiva mu ttima lyabwe. Bajjudde bukuusa.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | | 32 | | 33 | | 34 | | 35 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/015.mp3
42
15