|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu, oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba? |
|
| 3 |
|
| Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa, oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola? |
|
| 4 |
|
| Naye onyooma Katonda n’oziyiza okwewaayo eri Katonda. |
|
| 5 |
|
| Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba. |
|
| 6 |
|
| Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze, emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza. |
|
| 7 |
|
| “Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo? |
|
| 8 |
|
| Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda? Olowooza gwe mugezi wekka? |
|
| 9 |
|
| Kiki ky’omanyi kye tutamanyi? Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina? |
|
| 10 |
|
| Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe, abasajja abakulu n’okusinga kitaawo. |
|
| 11 |
|
| Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu? |
|
| 12 |
|
| Lwaki omutima gwo gukubuzizza, amaaso go ne gatemereza |
|
| 13 |
|
| n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda, n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko? |
|
| 14 |
|
| “Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu? |
|
| 15 |
|
| Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be, n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge, |
|
| 16 |
|
| oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi! |
|
| 17 |
|
| “Mpuliriza nnaakunnyonnyola, leka nkubuulire kye ndabye: |
|
| 18 |
|
| abasajja ab’amagezi kye bagambye nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe |
|
| 19 |
|
| abo bokka abaweebwa ensi nga tewali mugwira agiyitamu. |
|
| 20 |
|
| Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna, n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa. |
|
| 21 |
|
| Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba. |
|
| 22 |
|
| Atya okuva mu kizikiza adde, ekitala kiba kimulinze okumusala. |
|
| 23 |
|
| Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya, amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde. |
|
| 24 |
|
| Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira, bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo. |
|
| 25 |
|
| Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde, ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna, |
|
| 26 |
|
| n’agenda n’ekyejo amulumbe, n’engabo ennene enzito. |
|
| 27 |
|
| “Wadde nga yenna yagejja amaaso ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi, |
|
| 28 |
|
| wakubeera mu bibuga eby’amatongo, ne mu bifulukwa, ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu. |
|
| 29 |
|
| Taddeyo kugaggawala, n’obugagga bwe tebulirwawo, n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka. |
|
| 30 |
|
| Taliwona kizikiza, olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge, era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala. |
|
| 31 |
|
| Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina ky’ajja kuganyulwa. |
|
| 32 |
|
| Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka, n’amatabi ge tegalikula. |
|
| 33 |
|
| Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera, ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo. |
|
| 34 |
|
| Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba, era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi. |
|
| 35 |
|
| Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu, embuto zaabwe zizaala obulimba.” |
|
|
|
|