|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Omuntu ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu, Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo? |
|
| 3 |
|
| Teri muntu mugezi awalaza mpaka nga gwe bw'okola, Ayogera ebigambo ebitayinza kuvaamu kalungi. |
|
| 4 |
|
| Ebigambo byo biyinza okuleetera abantu obutatya Katonda, Ne bibaziyiza n'okumusinza. |
|
| 5 |
|
| Kubanga by'oyogera biraga obutali butuukirivu bwo. By'oyogera byonna bya bulimba. |
|
| 6 |
|
| Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga, so si nze. Ebigambo byo gwe bye bikusingisa omusango. |
|
| 7 |
|
| Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi tezinnabaawo? |
|
| 8 |
|
| Wali owuliddeko Katonda byateesa mu kyama? Gwe wekka alina amagezi? |
|
| 9 |
|
| Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Biki by'otegeera ffe bye tutageera? |
|
| 10 |
|
| Abameze envi n'abakadde ennyo tuli nabo, Abasinga ennyo kitaawo obukadde. |
|
| 11 |
|
| Okubudaabuda kwa Katonda olowooza kutono, tekukumala, Oba ebigambo eby'obuwombeefu bye twogedde naawe? |
|
| 12 |
|
| Lwaki omutima gwo gukutunduga? Lwaki otunuuza busungu? |
|
| 13 |
|
| N'okusunguwala n'osunguwalira Katonda? N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko. |
|
| 14 |
|
| Omuntu yani okubeera omulongoofu? Omuntu azaalibwa omukazi ayinza okubeera omutuukirivu? |
|
| 15 |
|
| Olaba Katonda teyeesiga bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge. |
|
| 16 |
|
| Olwo kiri kitya eri omuntu omwonoonefu era omugwagwa, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi! |
|
| 17 |
|
| Kankubikkulire, mpuliriza, Nkubuulire bye ndabye. |
|
| 18 |
|
| Nakubuulira ab'amagezi bye boogera, Bye bajja ku bajjajjaabwe, bye batabakweka. |
|
| 19 |
|
| Abaaweebwa ensi eno bokka, Era tewali munnaggwanga wakati mu bo. |
|
| 20 |
|
| Omubi aba mu buyinike ennaku ze zonna, Omujoozi abonaabona emyaka gye gyonna. |
|
| 21 |
|
| Awulira amaloboozi ag'entiisa, Lwabeera mu mirembe, lwalumbibwa abanyazi. |
|
| 22 |
|
| Tasuubira kuva mu kizikiza, Era okuttibwa kw'alindirira. |
|
| 23 |
|
| Abungeeta nga anoonya eky'okulya, nga yeebuuza gy'anaakijja. Amanyi nti olunaku olwa kazigizigi lumutuuseeko. |
|
| 24 |
|
| Okweraliikirira n'obuyinike bimutiisa, Nga kabaka eyeeteeseteese okulwana bw'atiisa. |
|
| 25 |
|
| Kubanga agalulidde Katonda omukono gwe, Nga asomoza Katonda Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 26 |
|
| Amufubutuka okumulumba, Agenda azuunza engabo ye ennene. |
|
| 27 |
|
| Nga yeenyumiriza olwo bugevvu obw'omu maaso ge, N'obunnene obw'ekiwato kye. |
|
| 28 |
|
| Era abeera mu bibuga ebidduuseemu abantu, Mu bifulukwa Ebisuliridde okuggwa. |
|
| 29 |
|
| Obugagga bwe bwa kaseera buseera, Naye yennyini taliwangaala. |
|
| 30 |
|
| Taavenga mu kizikiza, Aliba ng'amatabi agababuddwa omuliro, Era ng'ebimuli byagwo ebifumulwa embuyaga. |
|
| 31 |
|
| Bwe yeesiga ebitaliimu aba yeerimba, Kubanga era obutalimu yeeriba empeera ye. |
|
| 32 |
|
| Alikala mangu ng'ettabi, N'ataddamu kuggumiza. |
|
| 33 |
|
| Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; Era ng'omuzeyituuni ogukunkumula ekimuli. |
|
| 34 |
|
| Kubanga abo abatatya Katonda banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi. |
|
| 35 |
|
| Bakola ebibi ebiva mu kulowooza kwabwe, Omutima gwabwe gujjudde obukuusa.” |
|
|
|
|