|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo: |
|
| 2 |
|
| Mwenna muli basanyusa abatagasa. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula? |
|
| 4 |
|
| Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange. |
|
| 5 |
|
| Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe. |
|
| 6 |
|
| Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya? |
|
| 7 |
|
| Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza. |
|
| 8 |
|
| Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange. |
|
| 9 |
|
| Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso. |
|
| 10 |
|
| Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako. |
|
| 11 |
|
| Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi. |
|
| 12 |
|
| Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye. |
|
| 13 |
|
| Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka. |
|
| 14 |
|
| Agenda yeeyongera okummenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira. |
|
| 15 |
|
| Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa; |
|
| 17 |
|
| Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu. |
|
| 18 |
|
| Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira. |
|
| 19 |
|
| Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu. |
|
| 20 |
|
| Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda; |
|
| 21 |
|
| Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne. |
|
| 22 |
|
| Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo. |
|
|
|
|