|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Mpulidde bingi ebiri ng'ebyo. Kale olwo munkubagizizzaamu ki? |
|
| 3 |
|
| Emboozi eyo etegasa munaagikomya wa? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo? |
|
| 4 |
|
| Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, singa mmwe muli mu mbeera eyange gye ndimu bwe nti. Nandiboogeredde amafuukuule nga bwe nnyeenya n'omutwe mu bunyoomi. |
|
| 5 |
|
| Nandyogedde ebinaabagumya nzikakkanye ku buyinike bwammwe. |
|
| 6 |
|
| “Naye okwogera ne bwe njogera obulumi bwange tebukendeera. Era ne bwe nsiriikirira mpeeraweerako kenkana wa? |
|
| 7 |
|
| Ddala, ayi Katonda, ommaze amaanyi, N'abange bonna obasaanyizzaawo! |
|
| 8 |
|
| Ggwe okunvumbagira kye kinnumiriza. N'obukovvu bwange, abantu kwe basinziira okukakasa nti gunsinze. |
|
| 9 |
|
| Katonda, mu busungu bwe, antaagudde era ankyaye. Annumidde obujiji. Yeefudde omulabe wange, n'ankanulira amaaso! |
|
| 10 |
|
| Abantu bantunuulidde nga basamaaliridde. Bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama. |
|
| 11 |
|
| Katonda ampaddeyo eri ababi. Ansudde mu mikono gy'aboonoonyi. |
|
| 12 |
|
| Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo, n'ankuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa. |
|
| 13 |
|
| Abalasa obusaale bwe, banneetoolodde. Ayasaamu ensigo zange nga tasaasira n'akatono, n'ayiwa endulwe yange ku ttaka. |
|
| 14 |
|
| Anfubutukira ng'omulwanyi mu lutalo n'ammenyaamenya buli nnyingo. |
|
| 15 |
|
| Neetungidde ekikutiya ky'abakungubazi ne nkyeteeka ku mubiri. Nzigweddemu amaanyi ne ngalamira mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| Okukaaba ennyo amaziga kunfumizza entunula. Amaaso gazimbye ebisige ne gajjako ekifu. |
|
| 17 |
|
| Sso nga sikolanga bukambwe, era nsinza bulungi Katonda. |
|
| 18 |
|
| “Ayi ggwe ensi togaana musaayi gwange kululuma; n'omulanga gwange guleme kusirisibwa. |
|
| 19 |
|
| Ne mu kaseera kano mu ggulu eriyo anjulira, waggulu ampolereza tabuzeeyo. |
|
| 20 |
|
| Mikwano gyange bannyooma. Naye eri Katonda gye nzirukira nga njiwa amaziga. |
|
| 21 |
|
| Wabeewo ali wakati wa Katonda nange omuntu, okufaanana ng'oyo abeera wakati w'omuntu ne munne. |
|
| 22 |
|
| Kubanga emyaka mitono gye nsigazizza giggweeko, ntambule okugenda eyo gye siriva kukomawo. |
|
|
|
|