|
| 1 |
|
| Yobu n’addamu nti, |
|
| 2 |
|
| “Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino; mwenna muli mikwano gyange egitagasa. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo byammwe bingi, tebiikome? Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana? |
|
| 4 |
|
| Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe gwange. |
|
| 5 |
|
| Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi; ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe. |
|
| 6 |
|
| “Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona, bwe nsirika era busigalawo. |
|
| 7 |
|
| Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi; osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna. |
|
| 8 |
|
| Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala, obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso. |
|
| 9 |
|
| Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza, annumira emba; omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita. |
|
| 10 |
|
| Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera; bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama. |
|
| 11 |
|
| Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi, era n’ansuula mu mikono gy’ababi. |
|
| 12 |
|
| Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati; yankwata ku nsingo n’ammenyamu. Anfudde ssabbaawa, |
|
| 13 |
|
| abakubi b’obusaale banneetoolodde. Awatali kusaasira, afumita ensigo zange, omususa gwange ne guyiika ku ttaka. |
|
| 14 |
|
| Annumba, emirundi n’emirundi, n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira. |
|
| 15 |
|
| “Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu, ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba, ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange, |
|
| 17 |
|
| newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze, n’okusaba kwange nga kutukuvu. |
|
| 18 |
|
| “Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange; nneme okusirisibwa! |
|
| 19 |
|
| Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu; omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala. |
|
| 20 |
|
| Mikwano gyange bansekerera, amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda. |
|
| 21 |
|
| Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe. |
|
| 22 |
|
| “Emyaka mitono eginaayitawo nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/016.mp3
42
16