|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| Mpulidde bingi ebiri bwe ng'ebyo, Mu kifo eky'okumbudaabuda, munyongera nnaku. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo ebitaliimu munaabikomya ddi? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo? |
|
| 4 |
|
| Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, Singa mmwe muli mu mbeera gye ndimu, Nandiboogeredde amafuukuule, Nga bwe mbannyeenyeza omutwe gwange. |
|
| 5 |
|
| Naye nnandyogedde ebigambo ebibagumya, Nzikkakkanye ku buyinike bwammwe. |
|
| 6 |
|
| Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era ne bwe nsirikirira mpeeraweerako ke nkana wa? |
|
| 7 |
|
| Naye Katonda omaliddemu ddala amaanyi, Amaka gange gonna ogasaanyizzaawo! |
|
| 8 |
|
| Era onkwatidde ddala, ndinga omulabe wo, N'obukovvu bwange abantu kwe basinziira, okunnumiriza nti gunsinze. |
|
| 9 |
|
| Mu busungu bwe antaagudde era anjigganyizza. Era annumidde obujiji, Omulabe wange ankanulidde amaaso. |
|
| 10 |
|
| Abantu bantunuulidde nga basamaaliridde. Bankungaanirako Bankuba empi nga banswaza. |
|
| 11 |
|
| Katonda ampaddeyo eri ababi. Era ansuudde mu mikono gy'ababi. |
|
| 12 |
|
| Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo n'akuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa ye. |
|
| 13 |
|
| Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange nga tasaasira n'akatono, N'ayiwa endulwe yange ku ttaka. |
|
| 14 |
|
| Anfubutikirako ng'omulwanyi, Nnaammenyaamenya buli nnyingo. |
|
| 15 |
|
| Nkungubaga nga nesibye ekikutiya, Amaanyi gampeddemu ne ngalamira mu nfuufu. |
|
| 16 |
|
| Amaaso gange gamyuse olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa. |
|
| 17 |
|
| Newakubadde bya bukambwe ne ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu. |
|
| 18 |
|
| Ayi ensi, togaana musaayi gwange kululuma, N'okukaaba kwange kuleme okusirisibwa. |
|
| 19 |
|
| Ne kaakano, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu. |
|
| 20 |
|
| Mikwano gyange banyooma, Ntunuulidde Katonda gwe nkabira amaziga. |
|
| 21 |
|
| Njagala omuntu ampolereze eri Katonda, Okufaanana ng'oyo awolereza muntu munne. |
|
| 22 |
|
| Kubanga emyaka si mingi gye nsigaza giggweeko, Nditambula olugendo gye ssiriva kukomawo. |
|
|
|
|