×

Luganda Bible

Yobu 17

1
Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde.
2
Mazima waliwo abakudaazi gye ndi, N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe.
3
Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka; Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono?
4
Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera: Kyonoovanga olema okubagulumiza.
5
Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo, Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo.
6
Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu; Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu.
7
Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8
Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo, N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atatya Katonda.
9
Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi,
10
Naye mukomeewo mwenna, mujje nno: So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe.
11
Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa, Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12
Bafuusa ekiro okuba omusana: Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo.
13
Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange: Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza;
14
Oba nga ŋŋambye okuvunda nti Ggwe kitange; N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze;
15
Kale essuubi lyange liri ludda wa? N'essuubi lyange aliriraba ani?
16
Lirikka mu bisiba eby'amagombe, Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes