|
| 1 |
|
| “Obulamu bwange bugenze, ennaku zange ziwedde. Entaana kati y'enninze, |
|
| 2 |
|
| Mazima neetooloddwa abakudaazi, ndaba bwe bansosonkereza. |
|
| 3 |
|
| Ayi Katonda, ggwe oba onteerawo akakalu. Omulala ananneeyimirira ye ani? |
|
| 4 |
|
| Nga bw'obazibye emitima ne batasobola kutegeera, tobaleka kuwangula. |
|
| 5 |
|
| Alyamu banne olukwe afune ebyabwe, abaana be zibasanze. |
|
| 6 |
|
| “Nfuuliddwa ekisekererwa abantu, era gwe bawandira amalusu. |
|
| 7 |
|
| Ennaku enzibye amaaso. Nzenna nkozze, nsigadde magumba. |
|
| 8 |
|
| Abeeyita abalungi balaba kino ne beekanga. Ataliiko ky'avunaanibwa asituka, n'ambala nti sissaamu Katonda kitiibwa. |
|
| 9 |
|
| Eyeeyita omutuufu yeeyongere okuguma. N'atazzanga musango yeeyongere okwenyweza. |
|
| 10 |
|
| Kale mwenna mukomewo muddemu bye mubadde mugamba. Sijja kulaba mu mmwe wa magezi. |
|
| 11 |
|
| “Ennaku zange zigenze! Bye nteekateeka bifudde, era ne bye mbadde neegomba. |
|
| 12 |
|
| Bannange ekiro bakiyita misana. Ekizikiza bwe kikwata, nti bunaatera okutangaala. |
|
| 13 |
|
| Magombe yokka gye nsuubira okuba amaka gange. Nneeyalire neebake mu kizikiza. |
|
| 14 |
|
| Mpite entaana kitange n'envunyu mmange, era mwannyinaze. |
|
| 15 |
|
| Olwo essuubi lyange lye liruwa? Kye nsuubira ani akiraba? |
|
| 16 |
|
| Ndikkirira nakyo olwo magombe, ngalamire nakyo mu nfuufu?” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/017.mp3
42
17