Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze. |
| 2 |
| Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera. |
| 3 |
| “Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba. Ani omulala ayinza okunneeyimirira? |
| 4 |
| Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula. |
| 5 |
| Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera alireetera amaaso g’abaana be okuziba. |
| 6 |
| “Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso. |
| 7 |
| Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize. |
| 8 |
| Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda. |
| 9 |
| Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi. |
| 10 |
| “Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe! |
| 11 |
| Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange. |
| 12 |
| Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja. |
| 13 |
| Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza, |
| 14 |
| ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’ |
| 15 |
| kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba? |
| 16 |
| Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/017.mp3
42
17