×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Yobu 17

1
Omwoyo gwange gumenyeddwa, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde.
2
Mazima nneetooloddwa abakudaazi, Mbalaba nga bansosonkereza.
3
Nteerawo nno akakalu, gwe wekka onneeyimirire, Omulala ani ananneeyimirira?
4
Ozibye amagezi gaabwe tebategeera, Kyova obaleka balema okuwangula.
5
Oyo alyamu banne olukwe afune sente, Abaana be zibasanze.
6
Era anfudde ekisekererwa mu bantu, Era nfuuse gwe bawandira amalusu.
7
Amaaso gange gazibye olw'ennaku gye ndimu, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8
Abantu abeeyita abalungi balaba kino ne beewuunya. basituse okunsalira omusango nti sitya Katonda.
9
Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi.
10
Kale mwenna mukomewo muddemu bye mubadde mugamba. Sijja kulaba mu mmwe wa magezi.
11
Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kufudde, Wamu n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12
Mikwano gyange bafuusa ekiro okuba emisana, Ekizikiza bwe kikwata bagamba nti bunaatera okutangaala. bwe batyo bwe boogera.
13
Amagombe ge nsuubira okuba ennyumba yange, Nneeyalire nneebake mu kizikiza.
14
Mpite entaana kitange, N'envunyu mmange era mwannyinaze.
15
Kale essuubi lyange liri ludda wa? Kye nsuubira ani akiraba?
16
Ndikkirira nakyo mu magombe? Ngalamire nakyo mu nfuufu?
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes