|
| 1 |
|
| Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Mulituusa wa okuteega ebigambo? Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera. |
|
| 3 |
|
| Ekituyisa ensolo kiki, Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go? |
|
| 4 |
|
| Ggwe eyeetaagula olw'obusungu Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo? |
|
| 5 |
|
| Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga, So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga. |
|
| 6 |
|
| Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye, N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga. |
|
| 7 |
|
| Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga, N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga. |
|
| 8 |
|
| Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era atambulira ku mutego. |
|
| 9 |
|
| Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro, N'akakunizo kinaamunywezanga. |
|
| 10 |
|
| Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka, N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo. |
|
| 11 |
|
| Entiisa eneemukanga enjuyi zonna, Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye. |
|
| 12 |
|
| Amaanyi ge ganaalumwanga enjala, N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera. |
|
| 13 |
|
| Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe, Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye. |
|
| 14 |
|
| Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga; Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa. |
|
| 15 |
|
| Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye: Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga, |
|
| 16 |
|
| Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi, Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo. |
|
| 17 |
|
| Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi, So taabenga na linnya mu luguudo. |
|
| 18 |
|
| Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana, Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi. |
|
| 19 |
|
| Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga. |
|
| 20 |
|
| Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa. |
|
| 21 |
|
| Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda. |
|
|
|
|