Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Biludaadi Omusuuhi n'addamu ng'agamba nti: |
| 2 |
| “Munaatuusa wa okunoonya eby'okwogera? Musooke mwerowooze tulyoke twogere. |
| 3 |
| Otubalira ki mu bisolo? Lwaki otufuula abasiru? |
| 4 |
| Ggwe eyeetaagula mu busungu, ensi eneeyabulirwa ku lulwo? |
| 5 |
| “Obulamu bw'omubi kya mazima buzikira ng'ettaala, oba ng'omumuli ogutaddayo kwaka. |
| 6 |
| Aliba ng'ennyumba erimu ekizikiza, ettaala emulisaamu bw'ezikira. |
| 7 |
| Eyali atambula nga yeekakasa kati yeekengera w'alinnya. Amagezi g'awa abalala yennyini gamusudde. |
| 8 |
| Ebigere bye bimutunze: yeesudde yekka mu mutego. |
| 9 |
| Omutego gumukutte ekisinziiro, akakunizo kamunywezezza. |
| 10 |
| Bamuteze omuguwa mu ttaka, bamukwese ekigu mu kkubo lye. |
| 11 |
| Entiisa emufuluma buli ludda, emugoba buggereggere okumukwata. |
| 12 |
| Alumwa enjala emumalamu amaanyi n'akabi kamuli ku lusegere. |
| 13 |
| Ekirwadde kimulidde omubiri, ekimbe kimuwemmense. |
| 14 |
| Asikambulwa mu nnyumba ye mw'abadde ateredde entende, ne bamutambuza okumutwala eri Kabaka w'entiisa. |
| 15 |
| Beesulira mu nnyumba kaakano etekyali yiye, nga bamaze okumansa obuganga mw'abadde. |
| 16 |
| Aliba ng'omuti ogukala okuviira ddala ku mirandira wansi okutuuka waggulu ku busanso. |
| 17 |
| Alyerabirirwa ddala ku nsi ne wabulawo amujjukira. |
| 18 |
| Aliggyibwa mu kitangaala n'agoberwa mu kizikiza, ave mu nsi y'abalamu. |
| 19 |
| Ku babe tewalisigalawo mwana wadde omuzzukulu. Era gye yabeeranga teriwonawo muntu. |
| 20 |
| Ebuvanjuba n'ebugwanjuba abaliwulira ebimutuuseeko balyesisiwala ne batya. |
| 21 |
| Enkomerero y'ababi ye eyo, awatali kuwannaanya. Ekyo kye kirituukirira ku bateefiirayo ku Katonda.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/018.mp3
42
18